Abawagizi ba NUP abaakwatibwa akabinja ka JAT balunyumya
Bannakibiina ki National Unity Platform abaloza ku bukambwe bw'abakuuma Ddembe aba JAT sabitti eno bangi bakyanyiga biwundu mu malwaliro ag’enjawulo. Baker Sseyonga Mulinde awayizaamu n'abamu ku bano abayimbuddwa ku lw’okutaano lwa sabiiti. Bangi ku bano tubasanze banyiga biwundu.