Abayizi e Bududa bakyakaluubirizibwa okusoma
Amasomero agali mu bitundu ebiri ku bwerinde bw'okugwamu ebibamba gakyasanga okusoomoozebwa mu kuyisa abayizi. E Bududa eyo mu bitundu by'e Bugisu, abayizi mu masomero ga gavumenti agali mu bifo by'obwerende ebigezo bya siniya ey'okuna baabikolera ku bwa Katonda olw'enkuba eyali etandise okuleeta ebibamba mu kitundu ekyo. Newankubadde amasomero agamu gagezezaako okuyisa abayizi obulungi, akakiiko akalondoola eby’ensoma mu ggwnga ka Education Policy Review Commission, mu alipoota yaako gye kaakafulumya, kawa gavumenti amagezi okuzimba ebisulo mu masomero gaayo, abayizi nga bano bawone okutindigga engendo nga batambulira mu kusaba ssaala.