Abeegwanyiza ekifo kya Kawempe North: Munnamateeka Elias Nalukoola yeesowoddeyo
Ebbugumu lyeyongedde mu kusunsula abanaakwatira ekibiina ki NUP bendera mu kulonda kw’okujjuza ekifo ky’omubaka wa Kawempe North oluvanyuma lw’okufa kw’eyali omubaka w’ekitundu kino Muhammed Ssegirinya. Leero mu basunsuddwa kwekubade ne munnamateeka Luyimbazi Nalukoola songa yye kansala Kulya Sawulo agobeddwa lwa bitabo butawera.