Aga Khan Afudde :Palamenti emukungubagidde, emutenderezza olw’omukululo gwe
Palamenti ekungubagidde abadde akulira abaisimaili mu nsi yonna His Highness the Agha Khan eyafudde mu kilo ekikeseza olwalweero mu Kibuga Lisbon mu ggwanga lye Portgal. Mu lutuula lwa palamenti olwolwaleero olukubiriziddwa Amyuka Sipiika wa palamenti Thomas Tayebwa , ababaka batutte ekiseera ekyokusiriikirira okumujjukira. Bano ono bamutenderezza olw'omukululo gwalese mu bintu ebyenjawulo ebiyimirizzaawo ebyenfuna by'eggwanga. Aga Khan ono ye mutandisi w'ekitongole kyamawulire ekisinga obunene mu buvanjuba n'amasekati ga Africa ki NMG nga kino kyekitwala ne tivi yaffe eno NTV.