Alipoota eraga nti obubenje ku nnyanja bungi tebwogerwako
Waliwo okunonyereza okukoleddwa bannakyewa ab’ekitongole ki Reach a Hand nekizuuka ng’obubenje bungi ku nyanja buva ku bantu butamanya kuwuga betaase mu kaseera akakatyabaga, songa abalala tebaagalira ddala kwambala Life Jackets. Okunonyereza kuno baakukola ku nyanja Nalubaale naddala mu disitulikiti okuli Masaka,Rakai ne Mayuge,gye baakimanyira nti bangi ku bantu abafa tebamanyika. Kati bano bateesa nti okuwuga lifuuke ssomo mu masomero ga uganda , abantu bafune obukodyo obwetaasa singa bafuna akabenje k’okumazzi.