Pross Nambalirwa akomezeddwawo awaka
Government n’amaka g’obwapulezidenti abakola ku nsonga z’abannayuganda abali emitala w’amayanja bakomezaawo omuwala Pross Nambalirwa alude nga alaajana olw’obakama be okumutulugunya nebamusuula mu ddwaliro. Omuwala ono twamukulagako nga bazadde bbe amaziga gabayitamu e Ssembabule gyazaalwa nebasaba gav’t okubayamba. Aba minisitule y’ensonga z’ebweru bagamba waliwo okkobaane wakati wa kampuni ezitwala abantu ebweru sako abawarabu nga kati ezimu kuzzo zaakuggalwa.