Obunkenke bweyongedde e Masaka
Obunkenke bweyongedde e Masaka, Bukomansimbi ne Kyotera oluvanyuma lw’abantu abatannaba kutegeerekeka okusuula abibaluwa nga beeyita ab’ebijambiya nebatiisatiisa okuddamu okubakolako obulabe. Ebibaluwa bino biriko ennaku z’omwezi n’ebifo bwebagenda okukolamu obulabe. Omwogezi w’amagye Maj.Gen.Felix Kulaigye alabudde abaasudde abibaluwa bino nti balye kamanye nga akoza n’owebwa.