NMG egamba yakutwala yaakutwala mu maaso Aga Khan by'aleese
Abakulira ekitongole ki Nation Media Group Uganda, beeyamye okuluma n’ogw’engulu okulaba ng’ebintu eby’enjawulo ebibadde biddukanyizibwa His Highness the Agha Khan naddala wano mu Uganda bigenda mu maaso ng’ekigendererwa kye bwekibadde okutuusa lw’anaafuna omusika. Bino byogeddwa Samuel Sejjaaka Ssentebe w’olukiiko oluddukanya ekitongole ki NMG Uganda bw’abadde awa obubaka bw’okufa kwe.