Abasawo bannyonyola ku mmere enyigire mu byuma
Emmere enkube mu byuma naddala ebinyebwa abantu bangi bagyettanira olw’obwagazi, obusobozi n’ebirala newankubadde nga waliwo lw’efuuka ey’obulabe eri obulamu bw’abantu. Kyokka ebyo nga biri awo, waliwo n’obulabe obuli mu kulya ennyo emmere enkube mu byuma. Kati mu bulamu olwaleero, omusawo agenda kutunyonyola obulwa obuli mukulya emmere eno.