Ekibiina ki Forum Democratic Change kyanjudde omuyimbi Mukiibi Sadat
Ekibiina ki Forum Democratic Change kyanjudde omuyimbi Mukiibi Sadat amanyiddwa nga Kalifah Aganaga, okukikwatira bendera ku kifo ky’okujjuza omubaka wa Kawempe North. Ye Mukiibi Sadat ategeezeza nga bwabadde alina okwetaba mulw’okaano luno, oluvanyuma lw’okulaba nga bona ab’egwanyiza ekifo kino, tebajjaayo kifaananyi ky’abantu b’e Kawempe.