EKIFO KYA KAWEMPE NORTH: FDC eronze omuyimbi Aganaga okugikwatira bendera
FDC erangiridde omuyimbi Sadat Mukiibi amanyiddwa nga Aganaga okugikwatira bendera mu kalulu k’okujjuza ekifo ky’omubaka wa Kawempe North akagenda okubaawo omwezi ogujja. Akulira ebyokulonda mu kibiina kino Toterebuka Bamwenda agamba nti bagoberedde emitendera egyetaagisa okutuuka ku nzikiriziganya okuwa Mukiibi kaadi y’ekibiina. Mukiibi agamba nti mwetegefu okuvuganya nabonna abeesimbyewo.