LWAKI MUBALEMEZZA MU NKOMYO: Bannamateeka ba Besigye Ne Lutale bagenze mu kkooti
Bannamateeka ba Dr. Kiiza Besigye ne munne Obed Lutale baddukidde mu kkooti enkulu nga ku mulundi guno nga baagala ekake Ssaabawolereza wa gavumenti saako akulira ekitongole ky’amakomera beeyanjule gyeri bajinyonnyole lwaki bakyakuumidde abantu baabwe mu kkomera so ngate kkooti ensukkulumu yajungulula emirimu gya kkooti y'amagye eyabasiba.
Akulembeddemu bannamateeka bano Martha Karua okuva e Kenya asabye gavumenti obutalengezza nnamula ya kkooti ensukkulumu gyagamba nti eno yagguddewo essuula empya mu nfuga egoberera amateeka mu Uganda ne mu mawanga agali mu mukago gwa East Africa.