SSENTE EZAABULA MU BOU: Amaka g’omubalirizi omukulu mu minisitule y’ebyensimbi gaaziddwa
Okunoonyereza ku buwumbi enkaaga ezaabula mu bbanka enkulu omwaka oguwedde kweyongeddemu amaanyi oluvannyuma lwa poliisi okukwata abantu mwenda okuva mu minisitule y'ebyensimbi olunaku lw'eggulo. Lawrence Ssemakulu omubaririzi omukulu mu minisitule y'ebyensimbi y'omu ku baakwatiddwa eggulo era ng'olwaleero abakugu ba poliisi abakola ku kunoonyereza baazizza amaka ge agasangibwa e Nagguru.