Olunaku Aga Khan lwe yaweebwa omudaali ogusinga ekitiibwa mu Uganda
Uganda bweyali ejaguza ameefuga gaayo ag'omulundi gwa 55 mu disitulikiti ye Bushenyi mu octber wa 2017, Aga Khan y'omu ku baaweebwa omudaali olw’ebirungi by’eyali azze akolera eggwanga. Uganda Aga Khan yaaweebwa omudaali ogusinga ekitiibwa ogumanyiddwa nga Most Excellent Order of Pearl Of Africa era nga guno abaakagufuna babalirwa ku ngalo.