Ebibaluwa ebitiisabye basudde e Masaka, Kyotera Ne Bukomansimbi bisattiza abatuuze
Abatuuze mu disitulikiti ye Masaka, Kyotera ne Bukomansimbi bali mu kusattira oluvannyuma lw'abantu abatannamanyika okubasuulira ebibaluwa ebitiisatiisa okubakolako obulumbaganyi bw'ebijambiya. Obubaka ku bibaluwo bino bulaga ng'obulumbaganyi buno bwe bujja okutandika olunaku lw'enkya mu bitundu by'e Kyotera. Nga bwe bagamba nti ssekawuka kaali kakulumye, bwokalaba okadduka n'abantu mu bitundu bino bali mu kutya wabula ng'amgye gabagumizza.