Akabinja ka JAT, ani akaduumira okulumba bannabyabufuzi?
N'okutuusa kati, omuntu omutuufu aduumira ekibinja ekiyibwa JATT tannaba kutegeerekeka oluvannyuma lw'ebiwayi by'ebyokwerinda gye bava byombi okwegaana okuba emabega w'ebikwekweto bye bazze bakola na ddala ku b'oludda oluvuganya. Ekitongole kino mu bujjuvu kiyitibwa Joint Anti-terrorism Task Force nga kivunaanyizibwa ku kulwanyisa butujju era nga kigatta ebintongole by'ebyokweirnda byonna. Obukambwe bwa bano bwasinze kwolesebwa ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde, bwe baagajambula Elias Luyimbazi Nalukoola akwatidde NUP bendera mu Kalulu k'okujjuza ekifo ky'omubaka wa Kawempe North nga ava okusunsulibwamu akakiiko k'ebyokulonda. Tutunuulidde abakugu bye boogera nga bangi bagamba nti ebikolebwa gavumenti ebimanyiiko era bigenderere.