Akakiiko kaagala abasoma obusawo baweebwe ebigezo nga tebannaweebwa bifo
Abasawo ne bannabyanjigiriza bawagidde ekiteeso kya kakiiko akalondoola ebyenjigiriza mu ggwanga ka Education Policy Review Commmission , okuteekawo ebibuuzo ebyabayizi abayingira amatendekero agawaggulu nga baagala okukola amasomo gwobusawo. Wabula ekyokuteekeekawo ebibuuzo eri abayizi bano nga bafulumye amatendekero, kibaddeko okukubagana empawa.