Akalulu ka Kawempe North: akakiiko kasisinkanye abesimbyewo
Abatwala eby'okwerinda, n'akakiiko ke by'okulonda, basanze akaseera akazibu okukakasa abeesimbyewo okuvuganya ku kifo ky'omubaka wa Kawempe North nga bwebagenda okuba n'akalulu ak'amazima n'obwenkanya. Bano bategeezezza nga bwe baatandise okutiisibwatiisibwa, kale nga gyebalaga tebalabayo kalungi n'akamu. Bino bibadde mu lukiiko abesimbyewo lwebabaddemu nabebyokwerinda okulaba butya bwebagenda okukubamu kakuyege, nebifo ebyenjawulo okwewala okukoonagana.