Amasasi ku NUP, aba JAT bazzeemu okulumba bannabyabufuzi
Amasasi ne ttiya-ggaasi bisaanikidde ekitebe ky'ekibiina ki NUP, abakikulembera n'abawagizi bwe babadde batekaateka okwolekera okuyiggira munnaabwe Luyimbaazi Nalukoola akalulu k'okujjuza ekifo ky'omubaka wa Kawempe North.Bano era babadde bakulembeddwamu akabinja ka JAT nga bagezaako okubakugira okutambulira mu bibinja ebinene.Olwlaeero, okuwenja akalulu ku kifo kino kuyingidde olunaku olw'okusatu.