Atwine aliko emmotoka z’awaddeyo eri ekitongole ky’omusaayi
Ateekerateekera ministry yeby'obulamu Diana Atwine akubirizza abasawo ne banauganda okuteeka amaanyi mu kulwanyisa ekirwadde kya Nalubiri kyagamba nti kimazeewo Banna Uganda mu kasirise Ono ategeezezza nti ng'ojjeeko bamaama abazaala n'obubenje, abantu abawangaala n'obulwadde bwa Nalubiri bebamu kubakyasinze okwetaaga omusaayi Okwogera bino Diana abadde awaayo motoka munaana eri ekitongole ki Blood Banka zibayambeko mukukungaanya omusaayi.