Ba kkansala baagala amasomero ga KCCA gongezebwe ssente
Ba kkansala mu lukiiko lwa KCCA baagala gavumenti eyongere ensimbi mu by’enjigiriza by'ekibuga okusobola okutumbula omutindo gw'ebyensoma. Kino kiddiridde okuba nti Kampala yakola bubi mu bibuuzo bya PLE nga tukitegedde nti mu masomero 79 agali wansi wa KCCA 16 tegaafunayo yadde omuyizi omu bw'ati eyayitira mu ddaala erisooka.