BAGENZE MU KKOOTI : Ab’omwana eyafa olw’eddagala lya Covid baagala obuwumbi 5
Maama w’omwana Jonathan Luyinda ow’emyaka 14 eyafa oluvannyuma lw’okukubwa ddoozi y’eddagala erigema Covid -19 ngali ku ssomero yeekubidde enduulu eri kkooti enkulu e Mpigi ng’ayagalala aliyirirwe obuwumbi butaano n’obukadde bina. Ngayita mu bannamateeka be Tendo Nalwadda agamba nti bannyini ssomero lya St. Martin Secondary School e Jannya tebamwebuzaako nga tebannagemesa mutabani we, ye gwagamba nti yasindika mu kisulo ky’essomero lino nga mulamu bulungi Nalwadda agamba nti eddagala eryakubwa omwana we lyamuviirako okuzimba, okunafuwa ssaako okugongobala ekyamutuusa n’okufa. Kkooti eno kati eragidde ssaabawolereza wa Gavumenti n,ab’essomero lya St Martin Secondary School basseemu okwewozaako kwabwe obutasukka nnaku 15.