Bannamateeka ba Besigye ne Lutale baddukidde mu kkooti etaputa ssemateeka
Banamateeka ba Dr Kiiza Besigye ne Obed Lutale leero baddukidde mu kooti etaputa ssemateeka nga bagisaba eyimirize eby’okuwozesa abantu baabwe mu kkooti y’amagye kye bagamba nti kimenya mateeka. Bano babadde bajulira ku nsala ya Kkooti y’amagye eyategeeza nti erina obuyinza okuwozesa ababiri bano era nga byonna by’ekola biri mu mateeka. Bino webiggyidde ng'olunaku lw'enkya ne kkooti ensukkulumu erindirirwa kusala ggoye mu musango ogwaloopwa omubaka wa Nakawa, Michael Kabaziguruka mu mwaka gwa 2016, oba nga ddala kimenya mateeka kkooti y’amagye okuwozesa abantu babulijjo.