Bannamawulire mutusonyiwe - Aba NRM e Wakiso beetonze ku lw’ekibiina
Abakulembeze ba NRM mu district y'e Wakiso basabye bannamawulire abaakosebwa mu kanyoolagano akaaliwo mu kalulu ka Kawempe North okubasonyiwa ku lw'ekibiina kyabwe. Bano bagamba nti bannamawulire babadde bakola omulimu gwa maanyi okutunda NRM, ng'okuba engeri y'akagenderere kiyinza okubalamu amaanyi ate ekibiina nekiddirira. Bano nga bakulemberwamu akulira NRM e Masuulita Muwada Namwanja basabye ne ssentebe wa NRM, Yoweri Museveni naye agatte ku ddoboozi lyabwe, bannamawulire babakwatirwe ekisa.