Crested Cranes eyongedde amaanyi mu kutendekebwa
Ttiimu y’eggwanga ey’abakyala abazannya omupiira gw’ebigere, Crested Cranes eyongedde amaanyi mu kutendekebwa nga yeetegekera empaka z’okusunsulamu abanaanzannya empaka z’ekikopo kya Africa ekya bakyala, Women’s Africa Cup of Nations, WAFCON. Bano baakuggulawo empaka zino nga bazannya ne Ethiopia mu luzannya olusooka Uganda lwegenda okutegeka wiiki ejja e Nakivubo n’oluvannyuma lw’ennaku ttaano badinngane mu kibuga Adis Ababa ekya Ethiopia. Omuzannyi Aisha Nantongo yeeyakasemba okwegatta ku ttiimu eno okudda mu bigere bya Shadia Nankya eyafunye obuvune.