Dduwa ya Ssegirinya erombeddwa, aba NUP beeyamye okuweerera abaana b’omugenzi
Abakulira ekibiina ki National Unity Platform beeyamye okuweerera abaana bomugenzi Muhammad S segirinya bonna gyebali okutuusa nga bamazeeko emisomo gyabwe.
Ateekerateekara ekibiina kino Lewis Rubongoya agambye nti ssegirinya yali mubaka ow’embala , era nga baakufaayo okulaba nga byeyaleka takkoze babimalirriza.
Bino babyogeredde Masaka ku kyalo kaddugala nga bajjukira nga bweziweze ennaku 40 bukyanga Ssegirnya afa.