E Buyende abatuuze basuula bakukunadde lwa bubinja bwa bannababufuzi
Wabaluseewo omuzze gw’okulwanagana mu bavubuka mu disitulikiti ye Buyende nga embiranye eri wakati wobubinja obuwagira bannabyabufuzi abeegwanyiza obubaka bwa palamenti. Tukitegedde nti bano bateega abatuuze ne babakaka okuwagira bebawagira, bwebagaana nebatanula okubakuba , nokubatusako obulabe. Poliisi etubuulidde nti ensonga eno egimanyiiko, era nga baliko webatuuse mu kukakanya abavubuka bano.