E Kamuli abatuuze beezimbira eddwaliro, gavumenti ekyagaanye okulisuumusa
Abantu abawangaalira ku kyalo Bunamabugweri mu gombolola y’e Namwedwa mu distulikiti ey’e kamuli baagala gavumenti esuumuuse eddwaliro lyabwe Kinu Health center II lyebeezimbira okudda ku mutendera ogwa Health Centre IV kiyambeko okutumbula ku by’obujjanjabi ebiri mu kitundu.Mu kiseera kino eddwaliro lino liri ku mutendera gwa Health Centre II ekibakaluubiriza okufuna obujjanjabi kubanga likola essawa ngere.