E Luwero waliwo eyesambye kkampeyini ez’awamu,agamba tajja kulinda ggaali
Omu ku beesimbyewo okuvuganya ku kaadi ya NRM ku kifo ky’omubaka wa Parliament owa Katikamu North mu district y’e Luweero yesambye eby’okuwenjeza awamu akalulu ne banne ng’agamba nti yewala buvuyo obuyinza okuvaamu okuyiwa omusaayi. Ronald Ndawula ngono yaliko Ssentebe wa District ye Luwero agamba nti afunye amawulire omu ku baavuganya nabo aliko abavubuka bajje e Kampala okumukolako effujjo n’abawagizi be. Kati agamba nti ye agenda kwenonyeza yekka akalulu wabula nga kino kikontana n'ebiragiro by'abatwala ebyokulona mu Kibiina.