E Ndaiga abakazi b’embuto bayita mu bugubi
Egombolola Ndaiga esangibwa ku Nyanja Muttanzige oba Albert esalagana n’e ggwanga li Congo mu disitulikiti ye kagadi ng’ewangaliramu abantu abasoba mu mitwalo ebiri. Eky’ennaku bano balina eddwaliro limu lyokka ku mutendera gwa Health Center two kyokka nga lyesudde wala nnyo n’ebitundu ebimu naddala eby’ebizinga. Mu mboozi eno ey’ebitundu ebibiri tugenda kukulaga okusomooza abatuuze beeno kwe bayitamu okufuna obujanjabi naddala abakyala abali e mbuto.