Ebbibiro lya Isimba lyakuddamu okuddaabirizibwa lwa njatika
Gavumenti ne kontulakita wa Chimna International Water and Electric Corporation bakyalemeddwa okukaanya ku ani agenda okusasula obukadde bwa dolla 150 ez'okudaabiriza ebibiro ly'amasanyalaze elya Isimba elyajjamu enjatiza nga kyerijje liggulwewo. Ebibiro lino lyatandika okukola mu mwaka gwa 2019 nga kati emyaka mukaaga egiyisewo kyoka kyali kyakanyizibwako nti lya kuwangaala emyaka 40 nga terinadaabirizibwa, so nga obuwangaazi lyaweebwa bwa myaka 100.Abaazimba ebibiro lino bakaanyiza okulidaabiriza , kyoka nga enzikiriziaganya ne gavumenti ku watuufu awanaava ensimbi z'okulidaabiriza kukyali kusika muguwa.