Waliwo abaagala okwekebeza akawuka akaleeta mukenenya kube kwa buwaze
Waliwo ababaka mu palamenti n'abakugu mu nsonga z'akawuka akaleeta mukenenya, abawulira nga kyandisaanidde abantu okutandika okeberebwa ku buwaze akawuka kano, olwo kyanguyize eggwanga okumanya abantu b'alyo bwe bayimiridde.Bano babadde mu lukiiko mwe batudde okuwangana amagezi ku ngeri Uganda gy'egenda okulwanyisaamu akawuka kano oluvannyuma lwa America okuyimiriza obuyambi bw'ebadde egiwa okumala ennaku 90.Ebitundu 80% ku nsimbi Uganda z'ebadde ekozesa mu kulwanyisa kajjampuni zibadde ziva mu America wabula nga gye bujja, abawangaala n'akawuka kano bandisomoozebwa ng'obujanjjabi tebukyamala.