Ebbula ly’amazzi ku palamenti, abakozi leero bakoledde waka
Olwaleero mpaawo mulimu gukoleddwa mu kizimbe kya Palamenti ekikulu ne wofisii eziriko nga kino kiddiridde amazzi ku kizimbe kino okusalwako. Abakozi ku kizimbe kino, kko n'ababaka ba palamenti bakedde kuweebwa bubaka obubasaba okukolera ewaka , okutuusa ng'ensonga eno egonjoddwa. Abakulira ekitongole ekikola ku by'amazzi ki National water and sewage corporation batubuulidde nti bebakedde okusalako emidumu egigenda ku Palamenti olwemirimu gy'okudaabiriza gye babade bakola okwetoloola palamenti n'ebitundu ebiri okumpi.