Ebbula ly’emirimu mu basawo, waliwo amawanga agaala bagende bakole
Ekimu ku bizibu Uganda by'esinga okusanga mu nsonga z'ebyobulamu, be basawo abatamala, kyokka okusinziira ku gavumenti , waliwo amawanga agalaze obwetaavu bw'okutwala abasawo abalala okuva wano. Kyokka okusinziira ku minisita w'ekikula ky'abantu, abakozi n'embeera zaabwe Betty Amongi, Uganda yateekebwa ku lukalala lw'amawanga agatakkirizibwa kuweereza basawo baayo wabweru wa ggwanga olw'ensonga nti nayo yennyini abasawo b'erina tebamala. Kino kati kiremesezza entekaateka gavumenti z'erina okufunira abasawo baayo emirimu ebweru w'eggwanga beekolere ku nsimbi.