Ebigambo bya Gen. Muhoozi ku X, Minisita Balam agamba si y’abiwandiika
Minisita we Nsonga z'abaana n'abavubuka Balam Barugahara atubuulidde nti ebigambo ebizze biwandiikibwa ku kibanja ky'omukutu gwa X ogw'omuduumizi w'amaggye ga Uganda Gen Muhoozi Kainerugaba si bibye kubanga waliwo abaakiwamba bayite ba Hackers. Kati ono agamba nti Muhoozi ateeka ekitiibwa mu nkola za gavumenti kko n'eddembe ly'obuntu,kale tayinza kuyisa lugaayu mu bitongole bya gavumenti omuli ne Palamenti. Ono awakanyizza n'ebizze byogerwa nti muhoozi yaweze nga bwajja okuteeka Dr Col Kiiza Besigye ku kalabba