Ebigezo bya P.7: Leero abayizi babalungamizza ku by’e balina okugobera
Waliwo abasomesa bana abakwatiddwa mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo nga balangibwa kugezaako kubba bigezo by’ekyomusanvu ebigenda okutandika ku lw’okusatu lwa wiiki eno. Omwogezi w’ekitongole ky’ebigezo Jeniffer Kalule avumiridde ebikolwa by’okubba ebigezo era n’alabula abayizi, abasomesa n’abazadde okubyewala. Leero abayizi b’ekyomusanvu lwe balungamiziddwa ku bye balina okugoberera nga bakola ebigezo byabwe ebyakamalirizo.