Ebikwata ku ndwadde ya ‘Down Syndrome’ | OBULAMU TTOOKE
Olwaleero mu Obulamu Ttooke tutunuulidde enkuza y’omwana alina embeera ya Down Syndrome. Buno nno bubeera bulwadde obukwata ku bwongo bw'omwana era omuntu awangaala nabwo mpaka lw'ava mu bulamu bw’ensi eno. Embeera eno okumanya yewuunyisa oyinza okusanga abalongo ng’omu yazaalibwa nayo ate omulala ye nga ali bulungi. Twagadde okumanya kijja kitya era omuzadde biki byalina okugoberera mu nkuza y’omwana ng’onno. Olunaku lw'eggulo ensi yonna lwe yabadde yeefumiitiriza ku kirwadd ekino.