Eby’e Ssese: Abawala abakukusibwa e Kalangala
Mu mboozi zaffe ez’okukusa ku bawala abaakavubuka okukolera mu bitundu by’e Ssese, olwaleero, tukutuusako omuwala omulala eyali azze e Kampala okunoonya nnyina ku myaka 9 gye by’aggweera nga naye ali ku bizinga e Ssese.N’ono abaamukukusa okumutwalayo baagenderera kumuteeka mu bbaala bamweyambise nga ekisikiriza abasajja okutundirako ebbaala n’okwetunda.Ku mazzi yagenderayo mu maziga nga n’okutuusa kati tayagalayo naye talina w’atandikira kuvaayo.PATRICK SSENYONDO k’atuwe emboozi eno.