EDDIINI MU BUKIIKAKKONO: Engeri gye yayamba okukukulaakulanya ekitundu
Eddiini y’abakulisitaayo yayingira mu Bukiikakkonoo bwa Uganda mu 1903 oluvannyuma lw’omukulembeze wa Acholi ow’ennono mu kiseera ekyo okukolagana n’Omukama wa Bunyoro n’amusindikira Abamiinsani. Okuva eddiini lwe yayingirayo, ereese enkulaakulana omuli amasomero, amatendekero g’ebyemikono n’ageddiini ebiyambye okukyusa abantu bangi mu bitundu by’omu bukiikakkono bwa Uganda. NTV yasobodde okukunganyako ebitonotono, PATRICK SSENYONDO k’abituwe.