Ekirwadde ki Ebola Sudan :Abaakakwatibwa baweze babiri
Minisitule y'ebyobulamu etegeezezza ng'abantu abalala 2 bwebakakasiddwa okubeera n'ekirwadde ki Ebola Sudan, ate nga abasoba mu 200, bebakyegenda maaso n'okubeera nga beekenenyezebwa ku bigambibwa okuba nti bandiba nga baakolaganako n'omu ku balwadde eyafa Sabiiti ewedde.
Wadde ng'abantu basabiddwa okubeera obulindala, minisitule egamba embeera y'ekirwadde kino tennasajjujka.