EKKUUMIRO LY’ENKULA LIGGADDWA: Aba UWA boogedde ensonga kwe basinzidde
Ab’ekitongole ekivunaanyizibwa ku bisolo by’omu nsiko ki Uganda Wildlife Authority basazeewo baggalewo ekifo awabadde wakuumirwa enkula ekya Zziwa Rhino Sanctuary e Nakitoma mu Nakasongola. Aba Uganda Wildlife Authority ekibatanudde okwezza obuyinza ku kifo kino batuuka n’okuggalawo eri abalambuzi, z’enkaayana ku ttaka ze bagamba nti zibadde ziyinza okuvaako obulabe eri ebisolo ebitalina musango. Aba Rhino Fund Uganda ne ba nnyini ttaka aba Zziwa Rhino and Wildlife Ranches be babadde bakaayanira ekifo kino.