Embeera y’abanoonyi b’obubudamu, abamu batandise bizineese okusobola okweyimirizaawo
Uganda erina abanoonyi b’obubudamu akakadde kamu n’emitwalo kinaana era ng’abasinga kubano bawangaalira mu mambuka n’obugwanjuba bw’eggwanga. Mu mboozi eno tugenda kukubuulira engeri abatuuze gye bawangaalamu n’abanoonyi b'obubudamu bano abava mu mawanga agenjawulo. Uganda yakwegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lw'abanoonyi b'obudamu ku lwokutaano lwa wiiki eno, ng'essira liteereddwa ku ngeri y'okuyimirira nabo.