EMISANGO EGIVUNAANWA BESIGYE:Ekitongole ky’amakomera tekimuleese kugiwulira
Kkooti ya Buganda Road egaanye okuwa ebiragiro ebiyimbula Dr. Kiiza Besigye okuva mu kkomera kyokka neeyimiriza emisango egibadde gimuvunaanibwa ng’egamba nti embeera y’obulamu bwe gy’alimu temusobozesa kuba nga awozesebwa mukiseera kino. Omulamuzi Winnie Nankya nga yaali mũ mitambo gy’omusango oguvunaanibwa Dr. Besigye ne Samuel Lubega Mukaaku egy’okukuma mũ bantu omuliro ategeezezza nti agiyimirizza okumala ennaku 60 kisobozese Besiye okufuna amaanyi okudda mu kkooti nga bwarinda n’ekinaava mu kkooti enkulu okusalawo ku nsonga y’emu gyeyateekayo ng’ayagala ayimbulwe.