EMPAKA Z’EBIKONDE: Nanziri waakuttunka ne Kayange ku musipi gwa Africa
Munnayuganda Catherine Nanziri olunaku lwenkya wakuttunka n'omutanzania Eugine Kayange ku musipi gwa Africa mu buzito bwa Bantam weight Olulwana luno lwa laawundi kkumi era nga lwakuyindira ku MTN Arena e Lugogo.Bano n'abalala abagenda okuttunka bapimiddwa olwaleero.