Enfa ya Dr. John Spire, omukazi eyalabwa mu katambi akwatiddwa
Omuwala abadde ayogerwako nti yali n'omugenzi Doctor Spire Kigundu mu woteli emu e Lubowa yakwatidwa polisi okubaako by'aginnyonnyola ku nfa ye.Omulambo gwa Dr. Kigundu gwasangibwa mu woteli eyitibwa Dream Guest House e Lubowa gyeyali agenze nga 21 Omwezi oguwedde.Polisi egamba oluvannyuma lw'essaawa nga emu, omuwala ono gwetutegeddeko nga Eva Mbambazi yalabibwako ku camera za woteli nga afuluma.Omwogezi wa Polisi mu Kampala, Patrick Onyango atubuulidde nti ono abadde ayiggibwa era fayilo ye eweereddwa omuwaabi wa gavumenti abawabule kukiki kye bazzaako.