Engeri essomero lya Don Bosco gye lyeyubudde okuva mu maka agalabirira abaana
Waliwo essomero eryatandika nga amaka omukuumirwa abaana abaggyibwa ku nguudo n’abatalina mwasirizi. Amaka gano gaali gaddukanyizibwa bannaddiini gye baasinziiranga okukyusa obulamu bw’abaana bano bafuuke abantu abagasa eggwanga. Ab’omu kitundu baasooka kulyesamba nga batya okusomesezayo abaana baabwe beetabike n’abaggyiddwa ku nguudo. Essomero lino liyimiriddewo ku buyambi obuva mu bazirakisa era gye buvuddeko aba Rotary Club y’e Bweyogerere baalidduukiridde oluvannyuma lw’okusiima omulimu gwe lizze likola.