Enguudo eziwerako zisaliddwako amataba mu Kampala
Enkuba ekedde okufudemba enkya ya leero eresse bangi nga bali mukusoberwa , olwamazzi ogujjula mu makubo, neganjaalira mu bifo ebibeeramu abantu okukkana ng’ebintu bingi byonooneddwa amazzi gano agabadde amangi. Omusasi waffe akedde ku nkya okutabaala enguudo ez’enjawulo okwekaanya abakoseddwa.kyoka kkyo ekitongole ki KCCA kitubuulidde nti newankubadde bannakampala bayise mu kaseera ka kasandali, amazzi gakakkanye mu dakiika ntono ddala okwawukanako nga bweguzze guba.