Waliwo abatandise okweyambisa ennyimba mu kaweefube w’okutaasa obutonde
Kaweefube w’okutaasa obutonde bw’ensi mu Uganda waliwo abamutadde ku mutendera omulala nga baagala kuyita mu nyimba okukubiriza ssi banna Uganda bokka wabula abantu mu nsi yonna okukola ebyo ebikuuma n’okutaasa obutonde. Bagamba nti Enyimba zituuka ku bantu bangi kale nga ngeri nnyangu era ekola ennyo mu kuzuukusa abantu okutaasa obutonde. Kawefube ono akulembeddwa omuyimbi munnansi w’eggwanga lya Denmark Bjorn Vido era aliko akivulu kyetegese mu Kibuga ky’e Gulu kyatuumye Music in the Space okubunyisa enjiri y’okutaasa obutonde, era asuubira okusombola abayimbi okuva mu ssemazinga endala mukaaga.