Wuuno musigansimbi w’e Mubende akyusizza obulamu bw’abantu
Abakyala okwenyigira mu kusiga ensimbi, kyekimu ku byogerwako nga entabiro ye nkulaakulana , kko n’obuyiiya mu bitundu gye bawangaalira. Kati waliwo omukyala omulimi nga ye Justine Katusabe, asasula omusolo, songa era atondawo n’emirimu eri abantu naddala abavubuka, nga kuno kwagasse n’okukola nga ekyokulabirako eri banne. Ono twogedeko naye, natubuulira olugendolwe mu mu by’obulimi.