Weetaaga omukugu okukulambika ku gaalubindi eziziyiza omusana | OBULAMU TOOKE
Buli woyita na ddala mu Kibuga Kampala ku bantu 20 bolaba tolemwa kulaba babiri nga bambadde galubindi mu na ddala eziziiyiza omusanna. Ekyewunyiisa bangi ku bano, tebasooka kulaba bakugu nga banaagula galubindi zino, era bbo emunyumira gy'asongako nasasula. Kyokka okusinziira ku bakugu, ne galubindi z'olaba nti za masappe ng'enjogera y'ekivubuka, nazo osaana kusooka kulaba mukugu n'akubuulira ezigwana okwambalwa okusinziira ku mbeera y'amaaso go.